Lwakuna, Noovemba 6
Mwebazenga olwa buli kintu kyonna.—1 Bas. 5:18.
Waliwo ebintu bingi bye tusaanidde okwebaza Yakuwa mu kusaba. Tusobola okumwebaza olwa buli kintu kyonna ekirungi kye tulina, kubanga ebintu byonna ebirungi biva gy’ali. (Yak. 1:17) Ng’ekyokulabirako, tusobola okumwebaza olw’ensi erabika obulungi, n’olw’ebintu ebyewuunyisa bye yatonda. Ate era tusobola okumwebaza olw’obulamu bwe tulina, olw’ab’omu maka gaffe, olwa mikwano gyaffe, n’olw’essuubi lye tulina. Tusobola n’okumwebaza olw’okutukkiriza okuba mikwano gye. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okulowooza ku bintu bye tusaanidde okwebaza Yakuwa. Abantu bangi mu nsi tebasiima. Emirundi mingi bangi balowooza ku ngeri gye bayinza kufunamu ebyo bye baagala, mu kifo ky’okulowooza ku ngeri gye bayinza okwolekamu okusiima olw’ebyo bye balina. Bwe tutwalirizibwa endowooza ng’eyo, mu ssaala zaffe tuba tusaba busabi Yakuwa kubaako by’atukolera na by’atuwa. Ekyo okusobola okukyewala, tusaanidde okweyongera okukulaakulanya omwoyo gw’okusiima ebyo byonna Yakuwa by’atukolera.—Luk. 6:45. w23.05 4 ¶8-9
Lwakutaano, Noovemba 7
Asabenga mu kukkiriza nga tabuusabuusa n’akamu.—Yak. 1:6.
Olw’okuba Yakuwa ye Kitaffe atwagala, tayagala kulaba nga tubonaabona. (Is. 63:9) Wadde kiri kityo, taziyiza bizibu byonna kututuukako, ebiyinza okugeraageranyizibwa ku migga oba ku muliro. (Is. 43:2) Naye atusuubiza okutuyamba nga ‘tubiyitamu.’ Era ka kibe kizibu ki kye twolekagana nakyo, ajja kukakasa nti tusigala nga tulina enkolagana ennungi naye. Yakuwa era atuwa omwoyo gwe omutukuvu ogw’amaanyi okutuyamba okuguma. (Luk. 11:13; Baf. 4:13) N’olw’ensonga eyo, tusobola okuba abakakafu nti bulijjo tujja kubanga ne bye twetaaga okusobola okugumira ebizibu n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Yakuwa atusuubira okumwesiga. (Beb. 11:6) Oluusi ebizibu bye twolekagana nabyo biyinza okulabika ng’eby’amaanyi ennyo. Tuyinza n’okutandika okubuusabuusa obanga Yakuwa asobola okutuyamba. Naye Bayibuli etukakasa nti Katonda asobola okutuwa amaanyi ne tusobola “okulinnya bbugwe.” (Zab. 18:29) N’olwekyo mu kifo ky’okubuusabuusa, tusaanidde okusaba Yakuwa nga tumwesigira ddala nti ajja kuddamu essaala zaffe.—Yak. 1:6, 7. w23.11 22 ¶8-9
Lwamukaaga, Noovemba 8
[Okwagala kulinga] ennimi z’omuliro ogubumbujja, ennimi z’omuliro gwa Ya. Amazzi agayira tegasobola kuzikiza kwagala, n’emigga tegisobola kukutwala.—Luy. 8:6, 7.
Ebigambo ebyo nga binnyonnyola bulungi okwagala okwa nnamaddala! Ebigambo ebyo bizzaamu abafumbo amaanyi. Biraga nti buli omu asobola okulaga munne okwagala okwa nnamaddala. Kyetaagisa okufuba abafumbo okusobola okulagaŋŋana okwagala ekiseera kyonna. Ng’ekyokulabirako, omuliro okusobola okweyongera okwaka, gulina okwongerwamu enku. Bwe kitaba kityo, omuliro ogwo gusobola okuzikira. Mu ngeri y’emu, okwagala okubeerawo wakati w’omwami n’omukyala okusobola okusigala nga kunywevu, balina okweyongera okunyweza enkolagana yaabwe. Ebiseera ebimu abafumbo bayinza okuwulira nti okwagala kwabwe kukendedde, naddala bwe baba nga boolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna, obulwadde, oba obuzibu mu kukuza abaana. Okusobola okukuuma “ennimi z’omuliro gwa Ya” nga zibumbujja mu bufumbo bwabwe, omwami n’omukyala balina okufuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. w23.05 20-21 ¶1-3